Ruth 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakazi ne bagamba Nawomi nti: “Omukama agulumizibwe, olwa leero ataakulese kubulwa wa kukununula; erinnya lye litenderezebwe wonna mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “ Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi ne bagamba Nawomi nti, “Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi ne bagamba Nawomi nti: “Mukama yeebazibwe! Akuwadde omuzzukulu ow'obulenzi, anaakulabiriranga. Omulenzi ayatiikirire mu Yisirayeli!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.