Ruth 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana alizza buto obulamu bwo, alikulabirira ne mu bukadde bwo, kubanga mukaamwana wo oyo akwagala, akusingira n'abaana ab'obulenzi omusanvu, y'amuzadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu (7) ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'okukulabirira mu bukadde bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'akulabirira mu bukadde bwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alibeera gy'oli akomyawo obulamu era aliisa obukadde bwo: kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab'obulenzi omusanvu, abaamuzaaliddwa.