Ruth 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakazi ab'oku muliraano ne bamuwa erinnya, ne bagamba nti: “Nawomi afunye omwana ow'obulenzi.” N'atuumibwa Obedi; ye oyo kitaawe wa Yesse azaala Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi; oyo ye kitaawe wa Yese azaala Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi ab'omuliraano ne batuuma omwana erinnya Obedi. Ne bagamba nti: “Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi.” Obedi oyo ye kitaawe wa Yesse, Yesse kitaawe wa Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.