Ruth 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula nti: “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi y'e Mowabu, atunda ekitundu ky'ettaka lya muganda waffe Elimeleki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba muganda w'omukazi nti, “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba owooluganda lwe nti: “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi y'e Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Elimeleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba muganda w'omukazi nti Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki: