Ruth 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bowazi kwe kumugamba nti: “Lw'ogula ettaka n'oliggya ku Nawomi ne Ruusi Omumowabu, ne nnamwandu w'omufu oteekwa okumutwalirako, osigazeewo erinnya ly'omufu n'obusika bwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bowaazi n'agamba nti, “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Luusi, nnamwandu Omumowaabu, okuzaawo obusika bwa bba eyafa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bowaazi n'agamba nti: “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Ruusi, nnamwandu Omumowaabu, ekibanja kiryoke kisigale mu mikono gy'ab'omu nnyumba y'omufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa.