Ruth 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'agamba nti: “Sijja kulinunula, kubanga bwe nkikola, nzija kugootaanya eby'obusika by'omu nnyumba yange. Ggwe linunule, nze sijja kusobola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'oluganda ow'okumpi n'ayogera nti, “Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze, ggwe weetwalire okununula kwange okwo, kubanga nze sijja kukinunula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli n'addamu nti: “Oba bwe guli, siyinza kukyenunulira, kubanga abaana abange tebalikisikira. Obuyinza mbulekedde ggwe, okinunule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula.