Ruth 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno edda mu Yisirayeli waalingayo empisa nti mu kununula ne mu kuwaanyisaganya ebintu, oli okukakasa nti ekikye akiviiriddemu ddala, yanaanulanga engatto ye n'agiwa munne; mu Yisirayeli bwe baajuliranga batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne, n'ekyo kyabanga bujulirwa mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edda mu Yisirayeli, eno ye yali empisa ey'okununula n'okuwaanyisa: okukakasa endagaano, omuntu yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne. Obwo bwe bwabanga obujulirwa mu Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri.