Ruth 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bowazi n'alangirira eri abakadde n'abantu bonna nti: “Olwa leero mmwe mubaddewo ng'abajulirwa, byonna ebibadde ebya Elimeleki ne Kiliyoni ne Makuloni kati mbiguze ku Nawomi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti, “Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bowaazi n'agamba abakulembeze, n'abalala bonna abaaliwo nti: “Muli bajulirwa olwaleero, nga nguze ku Nawomi byonna ebyali ebya Elimeleki ne batabani be, Kiliyooni ne Maaloni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.