Song of Solomon 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muganzi wange ambeerera ng'akasawo ka mirra akasula wakati w'amabeere gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muganzi wange ali ng'akawoowo ke ntadde wakati w'amabeere gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange.