Song of Solomon 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emizigo gyo nga gijjudde obuloosa! Erinnya lyo liri ng'omuzigo oguyiiyiddwa; abawalajjana kyebava bakwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amafuta go gawunya akaloosa; Erinnya lyo liriŋŋaanga amafuta agafukibwa; Abawala abatamanyi musajja kyebaava bakwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzigo gwe weesiize guwunya kawoowo keereere. Erinnya lyo liri ng'omuzigo omusaanuuse. Abawala abatannafumbirwa kyebava bakwegomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amafuta go gawunya akaloosa; Erinnya lyo liringanga amafuta agafukibwa; Abawala abatamanyi musajja kyebava bakwagala.