Song of Solomon 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsika, nkugoberere, tudduke; kabaka annyingizza mu bisenge bye. Ka tusagambize, tusanyukire mu ggwe; tujja kugulumiza okwagala kwo okutusingira n'evviini; batuufu abo abakwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Nga batuufu okukwegomba!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpalula, tunaakugoberera mbiro. Kabaka annyingizizza mu bisenge bye. Tunaakusanyukira ne tujaguliza mu ggwe, Okwagala kwo tunaakutendereza okusinga omwenge; Bakwagala lwa nsonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntwala gy'olaga tudduke tweggyewo. Ayi Ssaabasajja, nfuula owuwo, onnyingize mu kisenge kyo, tusanyukire wamu naawe, okwagala kwo tukutendereze okusinga omwenge. Abakwegomba baba batuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpalula tunaakugoberera mbiro: Kabaka annyingizizza mu bisenge bye: Tunaakusanyukira ne tujaguza, Okwagala kwo tunaakwogerako okusinga omwenge: Bakwagala lwa nsonga.