Song of Solomon 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tontunuulira otyo olw'obuddugavu bwange, kubanga enjuba yanzirugaza. Batabani ba nnyabo bannyiigira, ne bampa gwa kukuuma mizabbibu, naye omuzabbibu ogwange nagugayaalirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olw’okuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu. Kubanga omusana gunjokezza. Abaana ba mmange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze ssaalukuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temunziimuula olw'okuguba langi, kubanga okwokebwa omusana kwe kundeetedde ekyo. Bannyinaze bansunguwalira ne banteeka ku gw'okulabirira ennimiro y'emizabbibu, kale olususu lwange ne sirulabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu. Kubanga omusana gunjokezza. Abaana ba mmange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze saalukuuma.