Song of Solomon 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebimuli birabise ku nsi, obudde obw'okuyimba butuuse; eddoboozi ly'ejjiba liwulikise mu nsi yaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebimuli bimulisizza, n’ebiro eby’okuyimba bituuse, era n’okukaaba kw’amayiba kuwulirwa mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebimuli kati wonna byanyizza; Ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira, N'eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era n'ebimuli kati wonna byanyizza. Buno bwe budde ebinyonyi mwe biyimbira, era n'amayiba gawulirwa nga gayimbira mu nsi yaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebimuli birabise ku ttaka; Ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira, N'eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe;