Song of Solomon 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwagala ali ng'ennangaazi, oba akaweewo. Wuuyo, ayimiridde emabega w'ekisenge kyaffe, alengera mu madirisa, alingiriza mu bumooli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento. Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe, Alingiza mu madirisa, alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganzi wange ali ng'empeewo oba ennangaazi ento, Laba, ayimirira emabega w'olukomera lwaffe, Alingiza mu ddirisa, Yeeraga ng'atunuulira mu kamooli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muganzi wange ali ng'empeewo, oba ng'ennangaazi ento. Laba, ayimiridde kumpi n'olukomera lwaffe, alingiza mu ddirisa, atunuulira mu kamooli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganzi wange ali ng'empeewo oba ennangaazi ento: Laba ayimirira ennyuma w'olukomera lwaffe, Alingiza mu ddirisa, Yeeraga ng'alabikira mu mulimo ogulukibwa ogw'omu kituli.