Song of Solomon 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empagi zaako yakola za ffeeza, manvuuli yaako ya zaabu, entebe yaako ya biwempe bya kakobe; munda mwaliriddwa bawala ba Yeruzaalemu n'omutima ogwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza, ne wansi waakyo nga wa zaabu, n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu; ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala, okw’abawala ba Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empagi zaayo yazikola za ffeeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu, Wakati waayo nga waaliriddwa n'okwagala, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikondo byayo yakola bya ffeeza, ekyesigamibwako kya zaabu, ekituulibwako kya lugoye lwa kakobe olulukiddwa n'obukugu abakazi b'e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empagi zaayo yazikola za ffeeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu, Wakati waayo nga waalire n'okwagala, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi.