Song of Solomon 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kusituka neetooloole ekibuga mu nguudo ne mu mbuga zaakyo; nzija kunoonya oyo omutima gwange gwe gwagala. Namunoonya naye samuzuula
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga, mu nguudo ne mu bifo ebigazi; nanoonya emmeeme yange gw’eyagala, ne nnindirira naye saamulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera nti, “N'agolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo ne mu bifo ebigazi, Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala;” Namunoonya, naye ne ssimulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Namalirira nsituke ŋŋende ntambule ekibuga, mu nguudo zaakyo ne mu mpya, mmunoonyeeyo gwe njagala. Namunoonya n'ambulayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Naagolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo ne mu bifo ebigazi, Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala: Namunoonya, naye ne ssimulaba.