Song of Solomon 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali naakabayisa nti: ne nzuula omutima gwange gwe gwagala. Namunyweza, saamuta kugenda, okutuusa lwe namuyingiza mu nnyumba ya nnyabo, mu maka g'oyo eyanfuna mu lubuto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnali mbayiseeko katono, Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala. Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta, Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange, Ne mu kisenge ky'oyo anzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali naakabayitako bwe nti, gwe njagala ne mmulaba. Ne mmunyweza ne simuta, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, mu kisenge ky'oyo anzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnali mbayiseeko katono, Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala: Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta, Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange, Ne mu kisenge ky'oyo anzaala.