Song of Solomon 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bawala ba Yeruzaalemu, mbalayiza n'ennangaazi n'obusirabo obw'ettale: temutaataaganya yadde okuzuukusa omwagalwa, okutuusa w'anaayagalira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, mbalayiza empeewo n'enjaza ez'omu ttale: temugolokosanga, wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.