Song of Solomon 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiki ekyo eri mu ddungu ekyambuka, kiri ng'empagi y'omukka, ekubiddwa akawoowo ka mirra n'obubaani, n'effufugge ly'abatunzi erya buli kika kya kaloosa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu, afaanana ng’empagi ey’omukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu, okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ey'omukka, Ng'asiigiddwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu, N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ani ayambuka okuva mu ddungu, ng'ali ng'empagi ey'omukka, ng'asiigiddwa ebyakawoowo ebya mirra n'omugavu, n'ebyakawoowo byonna ebyo omusuubuzi by'atunda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ez'emikka, Asiigibwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu, N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi?