Song of Solomon 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entebe ya Solomoni yiiyo; ewerekerwako abasajja abatabaazi nkaaga, okuva mu bazira ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, kye kigaali kya Sulemaani, ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga, abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ke kadyeri ka Sulemaani, Abasajja ab'amaanyi nkaaga (60) bakeetoolodde, Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni ye avaayo ng'asituddwa ku ntebe ye, eyeebunguluddwa abakuumi be nkaaga ab'omu batabaazi ba Yisirayeli abasingayo obuzira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ke kadyeri ka Sulemaani; Abasajja ab'amaanyi nkaaga bakeetoolodde, Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri.