Song of Solomon 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna bambadde ebitala; bonna bakugu mu kutabaala, buli omu n'ekitala ku lukugunyu beetegekedde ebyekango by'ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bonna balina ebitala, era bamanyirivu mu kulwana; buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye, nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana, Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato, Olw'entiisa ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna bakwasi ba bitala abamanyirivu mu kulwana. Buli omu yeesibye ekitala nga mwetegefu okulwana, bwe balumbibwa mu kiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana: Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato, Olw'entiisa ekiro.