Song of Solomon 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'okwagala kwo kusanyusa, mwannyinaze, omugole wange; ng'okwagala kwo kulungi n'okukira evviini, n'akawoowo ka kalifuuwa wo nga kakira wala byonna ebyakaloosa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo, n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwagala kwo nga kulungi, omwagalwa, mugole wange! Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwagala kwo nga kulungi, ayi muganzi wange era mugole wange! Okwagala kwo kusinga nnyo omwenge. Ebyobuwoowo byo bye biwunya obulungi okusinga ebyobuwoowo ebirala byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwagala kwo nga kulungi mwannyinaze, mugole wange Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi!