Song of Solomon 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emimwa gyo, mugole wange, gitonnyolokoka mubisi gwa njuki; omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo. Akawoowo k'ebyambalo byo kali ng'akawoowo ka Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange; amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo. Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emimwa gyo, ayi mugole wange, giwomerera ng'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'akawoowo ak'ebyambalo byo kali nga ng'akawoowo aka Lebanooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emimwa gyo, ayi muganzi wange, giwoomerera ng'omubisi gw'enjuki. Olulimi lwo luliko amata n'omubisi gw'enjuki. Ebyambalo byo birina akawoowo konna aka Lebanooni!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa gyo, ai mugole wange, gitonnya ag'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'okuwunya kw'ebyambalo byo kuli ng'okuwunya kwa Lebanooni.