Song of Solomon 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
narudo n'amalanga, ebisenke ne budalasiini, n'emiti gyonna egy'obubaani, ko mirra n'ebigaji, na buli kya kawoowo kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’omugavu ne kalikomu, ne kalamo ne kinamoni, n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna, ne mooli ne alowe, wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akaloosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ebyobuwoowo ebiyitibwa saffurooni, kulamu, ne cinnammoni, n'obubaane obwa buli ngeri. Mirra ne alowe bisangibwa omwo, n'ebyobuwoowo byonna ebisinga okuwunya obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi.