Song of Solomon 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakamwebwa, nga zambuka okuva okunaaba; buli emu ezaala nnongo, mu zo temuli efiisa mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya, nga ziva okunaazibwa. Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amannyo go meeru: gatukula ng'eggana ly'endiga ezaakasalibwako ebyoya, ezambuka nga ziva okunaazibwa. Tezitambula kinneemu: buli emu eba ne ginnaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.