Song of Solomon 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzize mu nnimiro yange, mwannyinaze, omugole wange, nkungudde mirra yange n'obuwoowo bwange; ndidde ekisassalala n'omubisi; nywedde evviini n'amata gange. Mulye, mikwano, munywe; munywe mwekkye, mmwe abaagalana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange. Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange, Nywedde wayini wange n’amata gange. Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nzize mu nnimiro yange, omwagalwa, mugole wange; Nnoze mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndidde ebisenge byange eby'enjuki n'omubisi gwange; Nnywedde omwenge gwange n'amata gange. Mulye, mmwe ab'omukwano; Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi muganzi wange era mugole wange, nzize mu nnimiro yange. Nnoze mirra n'ebyakawoowo byange, ndidde ku mubisi gw'enjuki, ne ku bisasala byazo. Nnywedde omwenge gwange, n'amata gange. Mulye, mmwe abaagalana, munywe; munywe mukkute omukwano!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nzize mu nnimiro yange, mwannyinaze mugole wange: Nnoze mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndidde ebisenge byange eby'enjuki n'omubisi gwange; Nnywedde omwenge gwange n'amata gange. Mulye, mmwe ab'omukwano; Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange.