Song of Solomon 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutwe gwe, zaabu omukuŋŋunte okuzaama, emivumbo gy'enviiri ze gya mayengo, middugavu nga nnamuŋŋoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutwe gwe gulinga zaabu ennungi ennyo nnyini, Emivumbo gy'enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutwe gwe guli nga zaabu omulungi ennyo nnyini. Enviiri ze za mayengo, nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutwe gwe guli nga zaabu ennungi ennyo nnyini, Emivumbo gy'enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona.