Song of Solomon 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso ge gali ng'amayiba ku mwala gw'amazzi, aganaaziddwa n'amata, masengeke ng'amayinja ag'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’emigga egy’amazzi, agaanaazibwa n’amata, ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso ge gali ng'amayiba ku mabbali g'obugga obw'amazzi; Agaanaazibwa n'amata era agaateekebwamu obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso ge gali ng'enjiibwa eziri ku mabbali g'obugga obukulukuta amazzi, nga ziri ng'ezinaaziddwa mu mata, ziri awo ziwummudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso ge gali ng'amayiba ku mabbali g'obugga obw'amazzi; Agaanaazibwa n'amata era agaateekebwamu obulungi.