Song of Solomon 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amatama ge gali ng'akalimiro k'ebyakaloosa, akawunya akawoowo. Emimwa gye, malanga, gitonnyolokoka mirra.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ng’amalanga agakulukuta mooli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiddo egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi, Emimwa gye giri ng'amalanga, nga gitonnya mooli ekulukuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amatama ge gali ng'ennimiro omuli ebimera ebyobuwoowo, n'ebirungo by'enva ebyakaloosa. Emimwa gye giri ng'amalanga agatonnyolokokako eky'akawoowo ekiyitibwa mirra.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiddo egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi: Emimwa gye giri ng'amalanga, nga gitonnya mooli ekulukuta.