Song of Solomon 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa ke kawoomerevu, yenna mulungi ggero. Bw'atyo bw'ali muganzi wange, ye oyo mukwano gwange, mmwe bawala ba Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akamwa ke kalungi nnyo nnyini, weewaawo, yenna wa kwagalwa. Muganzi wange bw'ali bw'atyo, era bw'ali bw'atyo mukwano gwange, Mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emboozi ye mpoomerevu, na buli ekimuliko kinsanyusa. Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, bw'atyo bw'ali muganzi wange, ye wuuyo mukwano gwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kamwa ke kalungi nnyo nnyini: weewaawo, yenna wa kwagalwa. Muganzi wange bw'ali bw'atyo, era bw'ali bw'atyo mukwano gwange, Mmwe abawala ba Yerusaalemi.