Song of Solomon 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neebaka, naye omutima gwange nga gutunula. Wulira muganzi wange akonkona: “Nzigulirawo, mwannyinaze, muganzi wange, ejjiba lyange, omulungi ggero. Omutwe gwange gujjudde omusulo, n'emivumbo gy'enviiri zange, ssuulwe w'ekiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnali neebase, naye omutima gwange nga gulaba: Ne mpulira eddoboozi lya muganzi wange, nga akonkona ku luggi ng'ayogera nti: Nzigulira, omwagalwa, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala: Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, Emivumbo gy'enviiri zange gitobye amatondo g'omusulo ag'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali neebase, sso nga ntunula, ne mpulira muganzi wange ng'akonkona ku luggi, ng'agamba nti: “Nziguliraawo, muganzi wange, kabiite, omulungi wange, ataliiko kamogo! Omutwe gwange gutobye omusulo, enviiri zange zijjudde ssuulwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnali neebase, naye omutima gwange nga gulaba: Lye ddoboozi lya muganzi wange, akoona ng'ayogera nti Nzigulira, mwannyinaze, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala: Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, Emivumbo gy'enviiri zange gitobye amatondo eg'ekiro.