Song of Solomon 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neeyambudde dda omunagiro gwange, ate nziremu nnyambale? Nanaabye dda ebigere byange, ate nziremu mbiddugaze?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyambudde ekizibawo kyange; nnaakyambala ntya? Nnaabye ebigere, nnaabyonoona ntya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga nneeyambudde dda nze! Nziremu ate nnyambale? Nanaabye dda ebigere! Nziremu ate mbiddugaze?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyambudde ekizibawo kyange; naakyambala ntya? Nnaabye ebigere: naabyonoona ntya?