Song of Solomon 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange yali agenze ng'abuzeewo. Omutima ne gunzirika, kubanga yali agenze. Nanoonya, naye saamuzuula, Nakowoola, naye teyannyanukula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ng’avuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nzigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yali nga yagenze dda, ng'avuddewo. Bw'ayogedde omwoyo gwange ne guntyemuka, Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba; Ne mmuyita, naye n'atanziramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nzigulirawo muganzi wange, kyokka nga yabuzeewo dda! Ne njagala mpulire bw'ayogera, ne mmunoonya, nga sikyamulaba! Ne mmuyita, nga tanziramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nzigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yali nga yeegendedde, ng'avuddewo. Omwoyo gwange gubadde guntyemuse bw'ayogedde: Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba; Ne mmuyita, naye n'atanziramu.