Song of Solomon 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi bawala ba Yeruzaalemu, mbalayiza, bwe muzuula muganzi wange, munaamugamba ki? Mumugambe nti: “Ndwadde okwagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, bwe munaalaba muganzi wange, Mumubuulirenga ng'okwagala kugenda kunzita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbalayiza mmwe abawala b'omu Yerusaalemu, bwe mulaba muganzi wange, mumugamba nti okwagala nze kunzita, kummalawo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, bwe munaalaba muganzi wange, Mumubuulirenga ng'okwagala kugenda kunzita.