Song of Solomon 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muganzi wo agenze wa, ayi nalulungi mu bakazi bonna? Muganzi wo yakutte liri wa, tumukunoonyezeeko?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganzi wo agenze wa, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo yeekyusiririza wa, Tumunoonyeze wamu naawe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe nnalulungi mu bakazi bonna, muganzi wo alaze wa? Kkubo ki ly'akutte, tumunoonyeze wamu naawe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganzi wo agenze wa, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo yeekyusiririzza wa, Tumunoonyeze wamu naawe?