Song of Solomon 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naserengeta mu nnimiro y'ebinyeebwa, ndabe ebibaze mu biwonvu, ndabe oba emizabbibu gitojjedde, n'amakomamawanga nga gamulisizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti, Okulaba ebisimbe ebibisi ebikulira mu kiwonvu, Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti, ndabe ebimera ebikulira mu kiwonvu, ndabe n'emizabbibu oba nga gimulisizza, n'emikomamawanga oba nga gyanyizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aserengetera mu nnimiro ey'emmere erimu emiramwa, Okulaba ebisimbe ebibisi eby'omu kiwonvu, Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza.