Song of Solomon 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muganzi wange akkiridde mu nnimiro ye, mu kalimiro k'ebyakaloosa, alundire mu nnimiro, akuŋŋaanye amalanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye n’okunoga amalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu nnimiro omuli ebimera egy'akaloosa, Okulundira mu nnimiro eggana lye, n'okunogayo amalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, omuli ebimera ebyakawoowo, okulundira eyo eggana lye n'okunogayo ku malanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganzi wange aserengetedde mu nnimiro ye mu misiri egy'emiddo egy'akaloosa, Okuliira mu nnimiro, n'okunoga amalanga.