Song of Solomon 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ejjiba lyange, omulungi ggero, teri amufaanana; omwana omu yekka owa nnyina, omuganzi ew'oyo eyamuzaala. Abawala baamulaba ne bamutenda omukisa; bakaakabaka n'abasebeyi ne bamutendereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka; Mwana wa nnyina omu yekka; Mulonde era nnyina gwasinga okwagala. Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa; Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye muganzi wange ataliiko kamogo, ali omu. Ye muwala yekka nnyina gwe yazaala. Mu baana be, ye gw'ayagala ennyo. Abawala abamutunulako bonna bamutenda omukisa. Abakyala abeekitiibwa wamu n'abazaana, bonna bamutendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka; Mwana wa nnyina omu yekka; Mulonde w'omukazi amuzaala. Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa; Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza.