Song of Solomon 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Evviini ekkirire eri omwagalwa wange; ekkirire mpola mu mimwa ne ku mannyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze ndi wa muganzi wange, Naye yeegomba nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ndi wa muganzi wange, naye yeegomba nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze ndi wa muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze.