Song of Solomon 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjangu, muganzi wange, tulage mu nnimiro, tusule mu byalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza, obanga n’emikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tugende mu nsuku z'emizabbibu ku makya; Tulabe omuzabbibu oba nga gumulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tukeere mu nnimiro y'emizabbibu ku makya, tulabe oba nga gimulisizza, oba ng'ekimuli kyagyo kyanjuluzza, era oba ng'emikomamawanga gyanjuluzza. Eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tugende munsuku z'emizabbibu mu makya; Tulabe omuzabbibu oba nga giunulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.