Song of Solomon 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya tukeere mu nnimiro y'emizabbibu, tulabe oba emizabbibu gitojjedde, oba ebimuli byagyo bisansudde, oba amakomamawanga gamulisizza; eyo gye nnaakuweera okwagala kwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amadudayimu gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ayi muganzi wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoowunya ku kawoowo k'amandalake. Ebibala byonna ebirungi ennyo binaabeera awo kumpi n'oluggi lwaffe. Nkuterekedde, ayi muganzi wange, ebisanyusa ebiggya era n'ebikadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ai muganzi wange.