Song of Solomon 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigere byo nga biwoomera mu ngatto, ayi muwala w'omukungu! Ebiseera ku kisambi kyo biri ng'amagemu, agaakolebwa omuweesi omukugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, kye bataddemu omwenge ogutabuddwamu ebiguwoomesa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyetooloddwa amalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekkundi lyo, liri ng'ekikopo ekyekulungirivu, kye bataddemu omwenge ogutabuddwamu ebiguwoomesa. Olubuto lwo luli ng'ekiganda ky'eŋŋaano ekyetooloddwa amalanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyonjebwa n'amalanga.