Song of Solomon 8:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandikukutte ne nkutwala mu nnyumba ya nnyabo; eyo eyanjigiriza. Nandikuwadde evviini ey'akawoowo onywe, omubisi gw'amakomamawanga gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nandikukulembedde ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange, oyo eyangigiriza. Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa, omubisi ogw’amakomamawanga gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnandikuleese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, N'onjigiririza eyo okwagala; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, ne ku mubisi omusogole mu makkomamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nandikututte ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, n'onjigiririza eyo okwagala. Nandikuwadde ku mwenge omuwoomu n'onywako, ne ku mubisi omusogole mu makomamawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nandikulese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, Eyandinjigirizza; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, Ku mazzi g'ekkomamawanga lyange.