Song of Solomon 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani oyo ayambuka ng'ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Wansi w'omupeera we nakusisimulira; awo nnyoko we yakufunira munda, awo eyakuzaala we yalumirwa olubuto lwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzuukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ono ani ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nazuukusa okwagala kwo wansi w'omucungwa, mu kifo mwe wazaalirwa, nnyoko mwe yalumirwa ng'akuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.