Song of Solomon 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyambala ng'akabonero ku mutima gwo, ng'akabonero ku mukono gwo; kubanga okwagala kwa maanyi ng'olumbe; obuggya tebuddirira okufaanana amagombe. Okwaka kwakwo, kwaka kwa muliro, kwaka kwa muliro ogubengeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo, era ng’akabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa, obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe. Kwaka ng’ennimi ez’omuliro, omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe, Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okw'ennimi ezeememula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siba omutima gwo oyagale nze nzekka; emikono gyo gireme kuwambaatira mulala wabula nze nzekka, kubanga okwagala kwenkanya okufa amaanyi. Obuggya bukambwe, okwenkana amagombe. Okwagala kukoleera ne kwaka ng'omuliro, ogulina ennimi ezeememula!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe: Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okwa Mukama.