Song of Solomon 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazzi amangi tegalizikiza kwagala n'emigga tegirikubuutikira; omuntu ne bw'aliwaayo byonna by'alina awaka, afune okwagala, alinyoomebwa bunyoomwebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala n’emigga tegiyinza kukumalawo. Singa omuntu awaayo obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala, asekererwa nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta, Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Afuna kunyoomebwa kwoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omujjuzo gw'amazzi wadde engezi, tebiyinza kuzikiza kwagala. Oyo awaayo obugagga bwonna bw'aba nabwo mu nnyumba agule okwagala, afuna kunyoomebwa kwokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta: Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Yandinyoomereddwa ddala.