Song of Solomon 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'aba kisenge, tujja kukizimbako eminaala egya ffeeza; bw'aba omulyango, tujja kuguwagika n'embaawo ez'entolookyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa abadde bbugwe twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza, singa abadde luggi twandimuggalidde na mivule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwannyinaffe oyo bwaba nga ekisenge, Twalimuzimbyeko ekigo kya ffeeza, Era singa yali nga luggi, Twalimubisseeko embaawo ez'emivule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwannyinaffe oyo bw'anaaba ekisenge, tunaamuzimbako omunaala ogwa ffeeza; bw'anaaba oluggi, tunaamusiba n'emikiikiro egy'omuvule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga bbugwe, Tulimuzimbako ekigo kya ffeeza, Era oba nga luggi, Tulimubikkako embaawo ez'emivule.