Titus 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi kati ab'eddalu, aboogera omutali nsa, abalimba, naddala abava mu batayirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, n’okusingira ddala abo ab’omu bakomole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eriyo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, era okusingira ddala abo ab'omu bakomole,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo bangi abajeemu, naddala abamu ku bakomole, aboogera ebitaliimu era abalimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eriyo bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, abalimba, era okusinga ba mu bakomole,