Titus 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bateekwa okusirisibwa, kubanga batabangudde amaka mangi nga bayigiriza ebintu bye batandiyigirizza olw'okugoba amagoba omutali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba ag’obukuusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
basaanye okuziyizibwa, kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitasaana, balyoke beefunire amagoba amabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abagwanira okuzibibwanga emimwa; kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa: