Titus 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omu ku bo, ate omulanzi waabwe, yajulira nti: “Abakureti bulijjo balimba, bisolo bigwagwa, ngajaba zikaliira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti, “Abakuleete balimba bulijjo, z’ensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku bo, era nnabbi waabwe bo, yagamba nti, “Abakuleete balimba ennaku zonna, zensolo embi, ba mululu era bagayaavu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu mu bo, era omulanzi yagamba nti: “Ab'e Kureete bulijjo balimba; zensolo embi, ze mbuto engayaavu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu ku bo, nnabbi waabwe bo, yagamba nti Abakuleete balimba ennaku zonna, ensolo embi, embuto engayaavu.